Psalms 61

Ya Mukulu wa Bayimbi. Ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

1 aWulira okukaaba kwange, Ayi Katonda;
wulira okusaba kwange.

2 bNkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi,
omutima gwange nga gugenda gunafuwa.
Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
3 cKubanga gw’oli kiddukiro kyange.
Oli kigo eky’amaanyi mwe neekweka omulabe.

4 dNnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna;
ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
5 eKubanga ggwe, Ayi Katonda, owulidde obweyamo bwange:
ompadde omugabo awamu n’abo abatya erinnya lyo.

6 fOyongere ku nnaku z’obulamu bwa kabaka;
emyaka gye gimutuuse mu mirembe mingi,
7 galyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna.
Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.

8 hNdyoke nnyimbenga nga ntendereza erinnya lyo ennaku zonna,
nga ntuukiriza obweyamo bwange buli lunaku.
Copyright information for LugEEEE